Psalms 118

1 aMwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2 bKale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

5 cBwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 d Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 e Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

8 fKirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9 gKirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10 hEnsi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 iBanneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 jBankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 kBannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 l Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.

15 mMuwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 nSijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 o Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 pMunzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 qGuno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 rNkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.

22 sEjjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.

25Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 tAlina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 u Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 vGgwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE